Revelation 20:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate era ne ndaba malayika ng'akkirira ng'ava mu ggulu, ng'alina mu mukono gwe ekisumuluzo ky'ennyanga n'olujegere olunene.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu ng’alina ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma era ng’alina olujegere oluzito mu mukono gwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Ndaba malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'olujegere olunene mu mukono gwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba malayika ng'akka ng'ava mu ggulu, ng'akutte mu ngalo ze ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma, n'olujegere olunene.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba malayika ng'akka okuva mu ggulu, ng'alina ekisumuluzo ky'obunnya obutakoma n'olujegere olunene mu mukono gwe.