Revelation 20:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne ndaba nnamulondo ennene, enjeru, nga kuliko atuddeko; eggulu n'ensi ne bidduka okuva mu maaso ge, naye ne wabula ekifo ew'okubibeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi ne bidduka mu maaso ge; era tebyazuulirwa na kifo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba entebe ey'obwakabaka, ennene era enjeru, ne ndaba n'oyo agituddeko. Ensi n'eggulu ne biva mu maaso ge, ne bitaddayo kulabikako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba entebe ey'obwakabaka ennene enjeru, n'oyo eyali agituddeko, eggulu n'ensi ne bidduka mu maaso ge; n'ekifo kyabyo tekyalabika.