Revelation 20:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ndaba abafu, abanene n'abatene, nga bayimiridde mu maaso ga nnamulondo, ebitabo ne bibikkulwa. Ekitabo ekirala ne kibikkulibwa, kye kitabo ky'obulamu; abafu ne balamulibwa ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo, ku ebyo bye baali bakoze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba abafu, ab'ekitiibwa n'abatali ba kitiibwa, nga bayimiridde mu maaso g'entebe; ebitabo ne bibikkulwa, n'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, nga bayimiridde mu maaso g'entebe eyo ey'obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa. N'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku bye baakola, nga bwe byawandiikibwa mu bitabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba abafu, abakulu n'abato, nga bayimiridde mu maaso g'entebe; ebitabo ne bibikkulwa: n'ekitabo ekirala ne kibikkulwa, kye ky'obulamu: abafu ne basalirwa omusango mu ebyo ebyawandiikibwa mu bitabo, ng'ebikolwa byabwe bwe byali.