Revelation 20:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennyanja n'ereeta abafu be yalina; olumbe ne luleeta abafu baalwo, n'amagombe ne galeeta abaago; buli omu n'alamulibwa ku bye yakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ennyanja n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ennyanja n'ereeta abafu abagirimu. Okufa n'Amagombe nabyo ne bireeta abafu be birina. Bonna ne basalirwa omusango, ng'ebikolwa byabwe bwe byali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ennyanja n'ereeta abafu abalimu, n'okufa n'Amagombe ne bireeta abafu abalimu: ne basalirwa omusango buli muntu ng'ebikolwa byabwe bwe byali.