Revelation 20:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagombe n'olumbe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Okwo kwe kufa okwokubiri, ennyanja ey'omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Kuno kwe kufa okw'okubiri, okwo mu nnyanja ey'omuliro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Ennyanja eyo ey'omuliro kwe kufa okwokubiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okufa n'Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey'omuliro. Eyo kwe kufa okw'okubiri, ennyanja ey'omuliro.