Revelation 20:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'amukanyuga mu nnyanga, n'aggalawo omulyango, n'amusibiramu n'envumbo aleme kwongera kulimba mawanga okutuusa ng'emyaka olukumi giyiseewo. Oluvannyuma lw'egyo aliteebwa okumala akabanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’agusuula mu bunnya obutakoma era n’agusibiramu n’ateekako n’envumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ng’asumululwa okumala akaseera katono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'agusuula mu bunnya obutakoma n'aggalawo n'ateekako envumbo, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka lukumi (1,000) lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa okumala akaseera katono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'agusuula mu bunnya obutakoma, n'aggalawo, n'ateekako n'envumbo, guleme okuddamu okulimbanga amawanga, okutuusa emyaka olukumi lwe giriggwaako. Egyo bwe giriggwaako, gwa kusumululwa okumala akaseera katono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'agusuula mu bunnya obutakoma n'aggalawo n'ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate, okutuusa emyaka lukumi lwe giriggwaako; oluvannyuma lwagyo kigugwanira okusumululwa ebiro bitono.