Revelation 20:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ne ndaba nnamulondo, abazituddeko nga beebo abaaweebwa obuyinza okulamula. Era ne ndaba emyoyo gy'abantu abaatemebwako emitwe olw'okujulira Yezu n'olw'okubeera ekigambo kya Katonda. Beebo abataasinza kisolo n'ekifaananyi kyakyo, era abataafuna kabonero kaakyo mu kyenyi oba ku mikono gyabwe. Ne baddamu ne babeera balamu, ne balamula wamu ne Kristu emyaka lukumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo ne ndaba entebe ez’obwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gy’abo abaatemebwako emitwe olw’okunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw'okujuliranga Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kyayo, so tebakkiriza kabonero kaakyo ku byenyi byabwe ne ku mikono gyabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi (1,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga zituuliddwako abaweereddwa obuyinza okusala emisango. Era ne ndaba emyoyo gy'abo abaatemwako emitwe nga babalanga okunywerera ku Yesu, ne ku kigambo kya Katonda. Be bo abataasinza kisolo, wadde ekifaananyi kyakyo, era abatakkiriza kuteekebwako kabonero kaakyo mu byenyi byabwe, ne ku mikono gyabwe. Abantu abo baddamu okuba abalamu, ne bafugira wamu ne Kristo emyaka lukumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ndaba entebe ez'obwakabaka, nga kuliko abatuddeko, ne baweebwa okusala omusango; n'emyoyo gyabwe abaatemwako emitwe olw'okutegeeza kwa Yesu n'olw'ekigambo kya Katonda, n'abo abatasinza nsolo newakubadde ekifaananyi kyayo, so tebakkiriza nkovu ku kyenyi kyabwe ne ku mukono gwabwe ne baba balamu, ne bafugiranga wamu ne Kristo emyaka lukumi.