Revelation 20:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abafu abalala tebaalamuka okutuusa emyaka olukumi nga giwedde; okwo kwe kuzuukira okusooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abafu abalala tebaazuukira okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okusooka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa ng'emyaka olukumi (1,000) giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abafu abalala tebaddamu kuba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwaako. Okwo kwe kuzuukira okusooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abafu abalala tebaaba balamu okutuusa emyaka olukumi lwe gyaggwa. Kuno kwe kuzuukira okw'olubereberye.