Revelation 20:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeesiimye era mutuukirivu oyo agabana ku kuzuukira okusooka! Bano okufa okwokubiri tekubalinaako buyinza, wabula bagenda kubeera bakabona ba Katonda na bakabona ba Kristu; baliramula naye emyaka lukumi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Aweereddwa omukisa, era mutukuvu alizuukirira mu kuzuukira okusooka, kubanga okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye okumala emyaka lukumi (1,000).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ba mukisa era batukuvu abazuukirira mu kuzuukira kuno okusooka. Abo okufa okwokubiri tekubalinaako buyinza, naye balibeera bakabona ba Katonda era ba Kristo, era balifugira wamu naye emyaka lukumi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Aweereddwa omukisa, era ye mutukuvu alina omugabo mu kuzuukira okw'olubereberye: okufa okw'okubiri tekulina buyinza ku bo, naye banaabeeranga bakabona ba Katonda era ba Kristo, era banaafugiranga wamu naye emyaka lukumi.