Revelation 20:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'afuluma, n'alimbalimba amawanga agali mu nsonda ennya ez'ensi, ge ga Gogi ne Magogi, n'agakuŋŋaanya okulwana; obungi baliba ng'omusenyu gw'ennyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya ku lutalo: omuwendo gwabwe guliba ng'omusenyu gw'ennyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era aligenda okulimbalimba Googi ne Magogi, ge mawanga agali wonna wonna ku nsi. Alikuŋŋaanya abantu baago okulwana olutalo, nga bangi ng'omusenyu gw'ennyanja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era aligenda okulimba amawanga ag'omu nsonda ennya ez'ensi, Googi ne Magoogi, okubakuŋŋaanya ku lutalo: omuwendo gwabwe ng'omusenyu gw'ennyanja.