Revelation 20:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baazinda wonna ku nsi, ne bazingiza olusiisira lw'abatuukirivu n'ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro gwava mu ggulu ne gubawemmenta,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bambuka basale olusenyi olunene olw’ensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lw’ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne batabaala ensi engazi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekyagalwa, kyokka omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya ne gubamalawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne batalaaga ensi yonna, ne bazingiza enkambi y'abantu ba Katonda, n'ekibuga Katonda ky'ayagala. Kyokka omuliro ne gukka nga guva mu ggulu, ne gubookya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne balinnya ku bugazi bw'ensi, ne bazingiza olusiisira olw'abatukuvu n'ekibuga ekyagalwa: omuliro ne gukka okuva mu ggulu, ne gubookya.