Revelation 21:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'anzigya awo n'antwalira mu mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'annengeza ekibuga ekitukuvu, Yeruzaalemu, nga kikkirira kiva mu ggulu ewa Katonda,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’antwala ku ntikko y’olusozi olunene era oluwanvu mu kwolesebwa; n’andaga ekibuga Yerusaalemi ekitukuvu nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'antwalira mu Mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mwoyo n'anjijako, malayika n'antwala ku lusozi olunene era oluwanvu, n'andaga Yerusaalemu ekibuga ekitukuvu, nga kikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'antwala mu Mwoyo ku lusozi olunene oluwanvu, n'andaga ekibuga ekitukuvu Yerusaalemi nga kikka okuva mu ggulu ewa Katonda,