Revelation 21:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga kirina ekitiibwa kya Katonda, okutangalijja kwakyo nga kuli ng'okw'ejjinja ery'omuwendo yasipi, nga kitukula ng'ejjinja ettangaavu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga kyonna kijjudde ekitiibwa kya Katonda era nga kimasamasa ng’ejjinja ery’omuwendo omungi, erya yasepi, eritangalijja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga kirina ekitiibwa kya Katonda: okumasamasa kwakyo nga kulinga okw'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo, erya yasepi, eritangalijja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okumasamasa kwakyo nga kuli ng'okw'ejjinja ery'omuwendo ennyo eriyitibwa yasipero, eritangalijja.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga kirina ekitiibwa kya Katonda: okumasamasa kwakyo ng'ejjinja ery'omuwendo omungi ennyo, ng'ejjinja yasepi, eritangalijja: