Revelation 21:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyali kiriko bbugwe omunene omuwanvu, nga kuliko emiryango kkumi n'ebiri, nga ku miryango kuliko bamalayika kkumi na babiri, era nga ku miryango kuliko amannya ag'ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaana ba Yisirayeli agawandiikiddwako;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bbugwe waakyo yali mugazi era nga mugulumivu, ng’aliko emiryango kkumi n’ebiri era nga gikuumibwa bamalayika kkumi na babiri, n’amannya g’ebika ekkumi n’ebibiri ebya Isirayiri nga gawandiikibbwa ku miryango egyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bbugwe waakyo yali mugazi era nga muwanvu, nga kirina emiryango kkumi n'ebiri (12), ne ku miryango nga kuliko bamalayika kkumi na babiri (12), n'amannya g'ebika ekkumi n'ebibiri (12) eby'abaana ba Isiraeri nga gawandiikiddwa ku miryango gyakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyaliko ekisenge ekikyetoolodde era ekiwanvu, nga kiriko emiryango kkumi n'ebiri, egiriko bamalayika kkumi na babiri, era nga giwandiikiddwako amannya g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga kirina bbugwe omunene omuwanvu: nga kirina emiryango kkumi n'ebiri, ne ku miryango bamalayika kkumi na babiri; n'amannya agawandiikiddwako, ge g'ebika ekkumi n'ebibiri eby'abaana ba Isiraeri: