Revelation 21:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bbugwe w'ekibuga ng'atudde ku mayinja kkumi n'abiri ag'omu musingi, ku go nga kuliko amannya kkumi n'abiri ag'Abatume ekkumi n'ababiri ab'Akaliga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bbugwe yaliko amayinja ag’omusingi kkumi n’abiri ag’abatume b’Omwana gw’Endiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri (12), nga kuwandiikiddwako amannya kkumi n'abiri (12) ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'Omwana gw'endiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisenge ekyetoolodde ekibuga kyalina emisingi kkumi n'ebiri, nga giriko amannya g'abatume ekkumi n'ababiri, ab'Omwana gw'Endiga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bbugwe w'ekibuga yalina emisingi kkumi n'ebiri, ne kubaako amannya kkumi n'abiri ag'abatume ekkumi n'ababiri ab'Omwana gw'endiga.