Revelation 21:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyali ayogera nange yalina olumuli olupima olwa zaabu, olw'okupima ekibuga n'emiryango gyakyo ne bbugwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika eyali ayogera nange yali akutte mu mukono gwe omuggo ogwa zaabu ogupimisibwa, apime ekibuga, emiryango gyakyo era ne bbugwe waakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne Malayika eyayogera nange yalina omuggo ogwa zaabu ogw'okupimisa ekibuga n'emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Malayika eyayogera nange yalina omuggo ogwa zaabu nga gwa kupima ekibuga, n'emiryango gyakyo, n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eyayogera nange yalina ekigera olumuli olwa zaabu okugera ekibuga, n'emiryango gyakyo, ne bbugwe waakyo.