Revelation 21:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga kyali kya njuuyi nnya ezenkanankana, obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bwakyo; n'apima ekibuga n'olumuli, zaali sitadiyo akakumi kamu mu enkumi bbiri; obuwanvu, obugazi n'obusimba nga byenkana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekibuga kyali kyenkanankana enjuuyi zonna, n’obuwanvu nabwo nga bwenkana n’obugazi awamu n’obukiika. Byonna byali bipima kilomita enkumi bbiri mu ebikumi bina, buli kimu nga kyenkanankana ne kinnaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ekibuga kyali kyenkanankana enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo nga bwenkana n'obugazi bwakyo. N'agera ekibuga n'omuggo, ekipimo kya mabanga omutwalo gumu mw'enkumi bbiri (12,000), obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo nga byenkanankana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enjuyi z'ekibuga ekyo ennya zaali zenkana: ng'obuwanvu bwakyo bwenkana n'obugazi bwakyo. Awo malayika n'apima ekibuga ekyo n'omuggo gwe, ne kiweza kilomita ng'enkumi bbiri mu bina, obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo nga bwenkanankana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekibuga kyenkanyankanyizibwa enjuyi zonna, n'obuwanvu bwakyo buli ng'obugazi, n'agera ekibuga n'olumuli, amabanga kakumi mu enkumi bbiri: obuwanvu n'obugazi n'obugulumivu bwakyo bwenkanankana.