Revelation 21:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'apima ne bbugwe waakyo, ng'aweza emikono kikumi mu ana mu ena mu kipimo ky'omuntu, kwe kugamba ekya malayika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’apima ne bbugwe waakyo ne kiweza mita nkaaga mu mukaaga ng’ekipimo ky’omuntu bwe kiri ng’apimye, awamu n’eky’abamalayika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ate n'apima bbugwe waakyo, emikono kikumi mu ana mw'ena (144), ng'ekipimo ky'omuntu, n'ekya malayika bwe kiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'apima n'ekisenge kyakyo ekikyetoolodde, ne kiweza mita nga nkaaga obugulumivu. Ekipimo ekikozesebwa abantu, malayika kye yapimisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'agera bbugwe waakyo, emikono kikumi mu ana mu ena, ekigera ky'omuntu, kye kya malayika.