Revelation 21:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bbugwe yali azimbiddwa n'ejjinja lya yasipi, naye ekibuga kyennyini nga kya zaabu omwereere omutangaavu ng'ekirawuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n’amayinja agayesipi nga n’ekibuga kya zaabu omulongoose nga kitangalijja ng’endabirwamu ennungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bbugwe waakyo yali azimbiddwa n'amayinja aga yasepi, nga n'ekibuga kya zaabu omulungi, nga kitangalijja ng'endabirwamu ennungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisenge ekyo ekyetoolodde ekibuga, kyali kizimbiddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga yasipero. Kyo ekibuga nga kya zaabu mwereere, atangalijja ng'ekirawuli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'okuzimbibwa kwa bbugwe waakyo kwa yasepi: n'ekibuga kya zaabu ennungi, ng'endabirwamu ennungi.