Revelation 21:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emyaliiro gy'ekibuga nga giwundiddwa n'amayinja ag'omuwendo aga buli ngeri. Omwaliiro ogusooka nga gwa yasipi, ogwokubiri nga gwa saffiro, ogwokusatu nga gwa akyate, ogwokuna nga gwa simaragido,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emisingi gya bbugwe w’ekibuga nga giyooyooteddwa n’amayinja ag’omuwendo omungi ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n’amayinja aga yasepi, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kalukedoni, ogwokuna aga nnawandagala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Emisingi gya bbugwe w'ekibuga gyayonjebwa na buli jjinja ery'omuwendo omungi. Omusingi ogusooka nga gwa yasepi, ogwokubiri gwa safiro, ogwokusatu gwa kalukedoni, ogwokuna gwa nnawandagala,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emisingi gy'ekisenge ekyetoolodde ekibuga gyali giyooyooteddwa n'amayinja ag'omuwendo ennyo aga buli ngeri. Omusingi ogusooka gwayooyootebwa n'amayinja aga yasipero, ogwokubiri aga safiro, ogwokusatu aga kaludeedoni, ogwokuna aga simaragido,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Emisingi gya bbugwe w'ekibuga gyayonjebwa na buli jjinja ery'omuwendo omungi. Omusingi ogw'olubereberye yasepi; ogw'okubiri safiro; ogw'okusatu kalukedoni; ogw'okuna lya nnawandagala;