Revelation 21:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Saalabamu Kiggwa, kubanga ekiggwa kyamu ye Mukama Katonda Omuyinza wa buli kantu n'Akaliga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kibuga ekyo saalabamu yeekaalu, Mukama Katonda Ayinzabyonna awamu n’Omwana gw’Endiga, bo ye yeekaalu yaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ssaalabamu Yeekaalu mu kyo, kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, n'Omwana gw'endiga, ye Yeekaalu yaakyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kibuga ekyo ssaalabamu Ssinzizo, kubanga Mukama Katonda Omuyinzawaabyonna era n'Omwana gw'Endiga, bo ye Ssinzizo mu kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So ssaalabamu yeekaalu mu kyo: kubanga Mukama Katonda Omuyinza w'ebintu byonna, n'Omwana gw'endiga, ye yeekaalu yaakyo.