Revelation 21:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekibuga tekyetaaganga njuba, yadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kyali kikitangaaza; ate ettawaaza yaamu ke Kaliga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw’Endiga ye ttabaaza yaakyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekibuga nga tekyetaaga njuba wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, era n'ettaala yaakyo nga ye Mwana gw'endiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ekibuga ekyo tekyetaaga njuba, wadde omwezi okukyakira, kubanga ekitiibwa kya Katonda kye kikimulisa, era Omwana gw'Endiga ye ttaala yaakyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So ekibuga tekyetaaga njuba newakubadde omwezi, okukyakira: kubanga ekitiibwa kya Katonda kyakimulisa, n'ettabaaza yaakyo ye Mwana gw'endiga.