Revelation 21:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga galitambulira mu kitangaala kyakyo, n'abafuzi b'ensi balireeta amakula gaabwe mu kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekitangaala kyakyo kye kinaamulisanga amawanga ag’omu nsi, era abafuzi ab’omu nsi balijja ne bakireetera ekitiibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amawanga ganaatambuliranga mu kitangaala kyakyo, ne bakabaka b'ensi balireeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'omu nsi yonna banaatambuliranga mu kitangaala kyakyo, ne bakabaka b'oku nsi ne baleeta ebyobugagga byabwe mu kyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amawanga ganaatambuliranga mu musana gwakyo: ne bakabaka b'ensi baleeta ekitiibwa kyabwe mu kyo.