Revelation 21:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temuliyingiramu kikyafu na kimu, wadde oyo akola ebyenyinyalwa n'eby'obulimba; wabula abo bokka abawandiike mu kitabo ky'obulamu eky'Akaliga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali ekitali kirongoofu ekirikkirizibwa okuyingira mu kyo, wadde abo abatambulira mu mpisa ezitali nnongoofu oba abalimba, wabula abalikibeeramu, beebo bokka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu kitabo eky’obulamu eky’Omwana gw’Endiga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temuliyingira mu kyo kintu kyonna ekitali kirongoofu, wadde oyo akola eky'omuzizo oba omulimba, wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye tekiriyingirwamu kintu na kimu ekitali kirongoofu, wadde omuntu n'omu akola eby'ensonyi, oba alimba. Wabula abo bokka abaawandiikibwa mu kitabo ky'obulamu eky'Omwana gw'Endiga, be baliyingira mu kibuga ekyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
so temuliyingira mu kyo n'akatono ekintu kyonna ekitali kirongoofu newakubadde akola eky'omuzizo n'obulimba: wabula abo bokka abawandiikiddwa mu kitabo eky'obulamu eky'Omwana gw'endiga.