Revelation 21:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu nnamulondo nga ligamba nti: “Mulabe, ekisulo kya Katonda kiikino kiri mu bantu; ajja kusula mu bo, nabo balibeera bantu be, ne Katonda yennyini alibeera nabo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka nga lyogera okuva mu ntebe ey’obwakabaka nti, “Laba eyeekaalu ya Katonda kaakano eri mu bantu, anaabeeranga nabo era banaabeeranga bantu be, Katonda yennyini anaaberanga nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti, “Laba, eweema ya Katonda eri awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, ne Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, era anaabeeranga Katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne mpulira eddoboozi ery'omwanguka nga lyogerera awali entebe ey'obwakabaka, nga ligamba nti: “Laba, kaakano ekisulo kya Katonda kiri mu bantu; anaabeeranga nabo. Baliba bantu be, Katonda yennyini anaabeeranga nabo, nga ye Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mpulira eddoboozi eddene eriva mu ntebe nga lyogera nti Laba, eweema ya Katonda awamu n'abantu, era anaatuulanga wamu nabo, nabo banaabeeranga bantu be, naye Katonda yennyini anaabeeranga wamu nabo, Katonda waabwe: