Revelation 21:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era n'aŋŋamba nti: “Kiwedde! Nze Alufa ne Omega, Amasooka n'Enkomerero. Oli alumwa ennyonta ndimuwa amazzi okuva mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu ku bwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “ Bituukiridde. Nze Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa oyo alina ennyonta okunywa mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate n'aŋŋamba nti: “Ebintu bino byonna kati bituukiridde! Nze Alufa ne Omega, entandikwa n'enkomerero. Buli alina ennyonta, ndimuwa buwa amazzi ag'omu luzzi olw'obulamu n'anywa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Bituukiridde. Nze ndi Alufa ne Omega, okusooka n'enkomerero. Ndimuwa buwa alina ennyonta okunywa mu luzzi olw'amazzi ag'obulamu buwa.