Revelation 21:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abatiitiizi, abatali beesigwa, abeenyinyalwa, abatemu, abenzi, abalogo, abasamize na bonna abalimba, omugabo gwabwe guliba mu nnyanja ey'omuliro n'ebibiriiti; okwo kwe kufa okwokubiri.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye abati, n'abatakkiriza, n'abagwagwa, n'abassi, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebifaananyi, n'abalimba bonna, omugabo gwabwe gulibeera mu nnyanja eyaka n'omuliro ne salufa, okwo kwe kufa okwokubiri.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka abati, n'abatakkiriza, n'aboonoonefu, n'abatemu, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebyo ebitali Katonda, n'abalimba bonna, omugabo gwabwe guliba mu nnyanja ey'omuliro ogwaka ennyo, kwe kufa okwokubiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye abati, n'abatakkiriza, n'abagwagwa, n’abassi, n'abenzi, n'abalogo, n'abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe gulibeera mu nnyanja eyaka n'omuliro n'ekibiriiti; kwe kufa okw'okubiri.