Revelation 21:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya ebijjudde ebibonoobono omusanvu eby'oluvannyuma, n'ajja n'ayogera nange, n'agamba nti: “Jjangu, nkulage omugole, mukyala w'Akaliga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omu ku bamalayika omusanvu abaali bamaze okuyiwa ebibya ebyalimu ebibonoobono omusanvu eby’enkomerero n’ajja n’aŋŋamba nti, “Jjangu nkulage omugole w’Omwana gw’Endiga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omu ku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, ebyalimu ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero najja n'ayogera nange, ng'agamba nti, “ Jjangu, nkulage omugole, omukyala w'Omwana gw'endiga.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omu ku bamalayika omusanvu abaalina ebibya omusanvu, ebijjudde ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero, n'ajja n'ayogera nange, n'aŋŋamba nti: “Jjangu nkulage Omugole, muk'Omwana gw'Endiga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne wajja omu ow'oku bamalayika omusanvu abalina ebibya omusanvu, abajjula ebibonyoobonyo omusanvu eby'enkomerero; n'ayogera nange, ng'agamba nti Jjangu, nnaakulaga omugole, mukazi w'Omwana gw'endiga.