Revelation 22:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Ebigambo ebirangiddwa mu kitabo kino tobisirikira, kubanga obudde buli kumpi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'aŋŋamba nti, “Tokuuma bigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino nga bya kyama kubanga obudde buli kumpi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'aŋŋamba nti: “Ebigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino tobikuuma mu kyama, kubanga ekiseera kiri kumpi, bibeewo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Toteeka kabonero ku bigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino; kubanga obudde buli kumpi.