Revelation 22:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omwonoonyi ayongere okwonoona, omwonoonefu ayongere okweyonoona; ayisa obulungi ayongere okuyisa obulungi, n'omutuukirivu ayongere okuba omutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Leka ayonoona abeere ng'akyayonoona, era omugwagwa abeere ng'akyali mugwagwa, era n'omutuukirivu abeere ng'akyakola obutuukirivu, era n'omutukuvu, abeere ng'akyali mutukuvu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nga tebinnabaawo, omwonoonyi k'ayongere okwonoona, omugwagwa asigale nga mugwagwa, akola ebituufu ayongere okukola ebituufu, n'omutuukirivu asigale nga mutuukirivu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayonoona abeere ng'akyayonoona: era omugwagwa abeere ng'akyali mugwagwa: era n'omutuukirivu, abeere ng'akyakola obutuukirivu: era n'omutukuvu, abeere ng'akyali mutukuvu.