Revelation 22:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebweru eriyo mbwa, balogo, benzi, batemu, basamize na buli ayagala n'akola eby'obulimba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebweru ye eri embwa, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi, n'abasinza ebifaananyi, n'abo bonna abaagala era abakola eby'obulimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye abo aboonoonefu, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi b'abantu, n'abasinza ebyo ebitali Katonda, n'abo bonna abaagala era abakola eby'obulimba, balibeera bweru.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebweru ye eri embwa, n'abalogo, n'abenzi, n'abassi, n'abasinza ebifaananyi, na buli ayagala n'akola obulimba.