Revelation 22:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwoyo n'Omugole bagamba nti: “Jjangu!” N'oyo awulira, agambe nti: “Jjangu!” Alumwa ennyonta ajje; ayeegomba afune ku mazzi ag'obulamu ku bwereere.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Omwoyo n'omugole boogera nti, “ Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Na buli alina ennyonta ajje, ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mwoyo n'Omugole bagamba nti: “Jjangu, Mukama waffe Yesu.” Era buli awulira bino agambe nti: “Jjangu, Mukama waffe Yesu.” Buli alumwa ennyonta ajje, era buli ayagala amazzi agawa obulamu, akkirize okugafuna awatali kusasula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Omwoyo n'omugole boogera nti Jjangu. Naye awulira ayogere nti Jjangu. Naye alina ennyonta ajje: ayagala atwale amazzi ag'obulamu buwa.