Revelation 22:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndabula buli awulidde ebigambo ebirangiddwa mu kitabo kino, nti singa oli abyongerako, naye Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby'obunnabbi obw'ekitabo kino nti Omuntu yenna bw'ayongerangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ntegeeza buli awulira ebigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino nti: alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ntegeeza buli muntu awulira ebigambo eby'obunnabi obw'ekitabo kino nti Omuntu yenna bw'ayongerangako ku byo, Katonda alyongerako ku ye ebibonyoobonyo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino: