Revelation 22:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate singa oli aggyako ku bigambo ebirangiddwa mu kitabo kino, Katonda aliggyawo omugabo gwe ku muti ogw'obulamu ne mu kibuga ekitukuvu ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu yenna bw'aggyangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunnabbi buno, Katonda alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli alikendeeza ku bigambo by'obulanzi ebiri mu kitabo kino, Katonda alimuggyako omugabo gwe ogw'ebibala by'omuti oguwa obulamu, n'ogw'omu kibuga ekitukuvu, ebyogerwako mu kitabo kino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era omuntu yenna bw'aggyangamu mu bigambo eby'ekitabo eky'obunnabbi buno, Katonda aliggyako omugabo gwe ku muti ogw'obulamu, ne mu kibuga ekitukuvu, ebiwandiikiddwa mu kitabo kino.