Revelation 22:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wakati w'oluguudo lw'ekibuga n'omugga, ku ludda olw'eno ne ku ludda olw'eri olw'omugga, nga kuliko emiti egy'obulamu egibala emirundi kkumi n'ebiri buli mwaka, buli mwezi omulundi gumu; ebikoola byagyo nga bya kuwonya amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nga gukulukutira wakati w'oluguudo lw'ekibuga. Era ku buli ludda olw'omugga kwaliko omuti ogw'obulamu, nga buli gumu gubala ebibala kkumi na bibiri (12) eby'engeri endala buli mwezi, n'amakoola g'omuti nga gakuwonya amawanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne gukulukutira wakati w'enguudo z'ekibuga ekyo. Eruuyi n'eruuyi w'omugga ogwo, waaliwo omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala emirundi kkumi n'ebiri omwaka, nga gubala buli mwezi; amakoola gaagwo nga ga kuwonya amawanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
wakati w'oluguudo lwakyo. Era eruuyi n'eruuyi ew'omugga omuti ogw'obulamu, ogubala ebibala ekkumi n'ebibiri, oguleeta ekibala kyagwo buli mwezi: n'amalagala g'omuti ga kuwonya amawanga.