Revelation 22:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Temukyabeeramu kivumirire, wabula nnamulondo ya Katonda n'ey'Akaliga ze zinaabeerangamu; abaweereza be balimusinzanga,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kibuga ekyo teribaayo nate kikolimo. Entebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga eneebeeranga omwo, n'abaddu be banaamuweerezanga,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eyo teribaayo nate kikolimo. Entebe ey'obwakabaka eya Katonda era ey'Omwana gw'Endiga, eneebeeranga omwo, era abaweereza ba Katonda banaamusinzanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So teribaayo nate kikolimo: n'entebe ya Katonda n'ey'Omwana gw'endiga eneebeeranga omwo: n'abaddu be banaamuweerezanga,