Revelation 22:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekiro tekiribeerawo mulundi mulala; tebalyetaaga kitangaala kya ttawaaza oba eky'enjuba, kubanga Omukama Katonda waabwe y'alibamulisanga; baliramula emirembe n'emirembe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So teebenga kiro nate; nga tebeetaaga kumulisa kwa ttaala n'omusana gw'enjuba, kubanga Mukama Katonda anaabeeranga omusana gwabwe, era banaafuganga emirembe n'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiro tekiriddayo kubaawo, era tebalyetaaga kitangaala kya ttaala, wadde eky'enjuba, kubanga Mukama Katonda ye anaabeeranga ekitangaala kyabwe, era banaafuganga emirembe n'emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So teebenga kiro nate; so tebeetaaga kumulisa kwa ttabaaza n'omusana gw'enjuba; kubanga Mukama Katonda anaabawanga omusana: era banaafuganga emirembe n'emirembe.