Revelation 22:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate n'aŋŋamba nti: “Ebigambo bino byesigika era bya mazima. Omukama Katonda w'emyoyo gy'abalanzi, y'atumye malayika we okutegeeza abaweereza be ebiteekwa okutuuka amangu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, Ebigambo bino bya bwesigwa era bya mazima, era Mukama Katonda ow'emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebiteekwa okubaawo amangu
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika n'aŋŋamba nti: “Ebigambo bino bituufu ddala, era bya mazima. Era Mukama Katonda awa abalanzi Mwoyo we, atumye malayika we, okulaga abaweereza be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Ebigambo bino bya bwesige era bya mazima: era Mukama Katonda ow'emyoyo gya bannabbi yatuma malayika we okulaga abaddu be ebigwanira okubaawo amangu.