Revelation 22:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Yowanna nze nawulira era ne ndaba ebintu bino. Bwe namala okubiwulira n'okubiraba, ne neeyala ku bigere bya malayika eyali abindaga mmusinze.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nze Yokaana, nze nnawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne ngwa wansi ku bigere bya malayika oyo eyabindaga okumusinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Yowanne, nze nawulira era ne ndaba bino. Bwe namala okubiwulira n'okubiraba, ne nvuunama okumpi n'ebigere bya malayika eyandaga bino.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange Yokaana nze nnawulira ne ndaba bino. Bwe nnawulira ne ndaba, ne nvuunama okusinza mu maaso g'ebigere bya malayika andaga bino.