Revelation 22:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aŋŋamba nti: “Togeza! Nange ndi muweereza munno, munne w'abaganda bo abalanzi n'abo abakwata ebigambo ebirangiddwa mu kitabo kino. Sinza Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'aŋŋamba nti, “Laba tokola bw'otyo: ndi muddu nga gwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, wamu n'abo bonna abakwata ebigambo eby'ekitabo kino. Ssinza Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ye n'aŋŋamba nti: “Leka! Ekyo tokikola! Ndi muweereza munno, era mpeerereza wamu ne baganda bo abalanzi era n'abo abakwata ebigambo ebiri mu kitabo kino. Sinza Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'aŋŋamba nti Laba tokola bw'otyo: ndi muddu munno era ow'omu baganda bo bannabbi, n'abo abakwata ebigambo eby'ekitabo kino: sinza Katonda.