Revelation 3:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne malayika w'Ekleziya mu Sarudi muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Oyo alina emyoyo gya Katonda omusanvu n'emmunyeenye omusanvu, nti: By'okola mbimanyi. Olina erinnya nti oli mulamu, sso ng'oli mufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Saadi wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda n’emmunyeenye omusanvu nti, Mmanyi ebikolwa byo, ng’olina erinnya eriraga nti oli mulamu so nga oli mufu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Saadi wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n'emmunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Sarudi muwandiikire nti: Oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n'emmunyeenye omusanvu, bino by'agamba nti: Mmanyi by'okola. Mmanyi ng'omanyiddwa nti oli mulamu, sso ng'oli mufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eri malayika ow'ekkanisa y’omu Saadi wandiika nti Bw’ati bw'ayogera oyo alina emyoyo omusanvu egya Katonda, n’emunyeenye omusanvu, nti Mmanyi ebikolwa byo, ng'olina erinnya ery'okuba omulamu, era oli mufu.