Revelation 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga waguma nga bwe nagamba, nange nzija kukuwonya akadde ak'okugezebwa akagenda okubaawo ku nsi yonna, okugeza abo abali ku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwokubanga wakwata ekigambo kyange eky’okugumiikiriza, nange ndikuwonya ekiseera eky’okugezesebwa ekinaatera okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abo abatuula ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga wakwata ekiragiro kyange ekigamba nti: ‘Gumiikiriza,’ nange ndikuwonya mu kiseera eky'okugezebwa, ekigenda okujja ku nsi yonna, okugeza abo abali ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga weekuuma ekigambo eky'okugumiikiriza kwange, era nange ndikukuuma obutayingira mu kiseera eky'okukemebwa, ekigenda okujja ku nsi zonna, okukema abatuula ku nsi.