Revelation 3:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliba awangudde, ndimufuula empagi mu kiggwa kya Katonda wange; taliddayo kufuluma bweru, era ndimuwandiikako n'erinnya lya Katonda wange n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yeruzaalemu omuggya akkirira ng'ava mu ggulu ewa Katonda wange; ndimuwandiikako n'erinnya lyange eriggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, mw’ataliva emirembe gyonna, era ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n’erinnya ly’ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya nga kikka okuva mu ggulu eri Katonda wange n’erinnya lyange eriggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awangula ndimufuula empagi mu Yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru, nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange, n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awangula, ndimufuula empagi mu Ssinzizo lya Katonda wange, era talirivaamu. Ndimuwandiikako erinnya lya Katonda wange, n'erinnya ly'Ekibuga Yerusaalemu ekiggya, ekikka nga kiva mu ggulu ewa Katonda wange. Era ndimuwandiikako erinnya lyange eriggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awangula ndimufuula empagi mu yeekaalu ya Katonda wange, so talifuluma nate bweru: nange ndiwandiika ku ye erinnya lya Katonda wange n'erinnya ly'ekibuga kya Katonda wange, Yerusaalemi ekiggya, ekikka okuva mu ggulu eri Katonda wange, n'erinnya lyange eriggya.