Revelation 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ne malayika w'Ekleziya mu Lawodikeya muwandiikire nti: ‘Bw'ati bw'agamba Oyo Amiina, Omwesigwa, Omujulirwa omutuufu ddala, Ensibuko y'ebyo Katonda bye yatonda, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eri malayika ow’Ekkanisa ey’omu Lawodikiya wandiika nti: Bw’ati bw’ayogera oyo Amiina, omujulirwa, omwesigwa, ow’amazima, omukulu w’abaliwo, n’abalibaawo emirembe gyonna, era ensibuko y’ebitonde bya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti, Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Malayika w'ekibiina ky'abakkiriza Kristo eky'omu Lawodiikiya muwandiikire nti: Oyo ayitibwa Amiina, Omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, asibukamu ebyo Katonda bye yatonda, bino by'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era eri malayika ow'ekkanisa ey'omu Lawodikiya wandiika nti Bw'ati bw'ayogera oyo Amiina, omujulirwa omwesigwa era ow'amazima, olubereberye lw'okutonda kwa Katonda, nti