Revelation 3:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmanyi by'okola; tonnyogoga ate tobuguma; waakiri singa nno onnyogoga, oba singa obuguma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmanyi ebikolwa byo: toyokya so tonnyogoga, nandiyagadde obe ng’oyokya oba ng’onnyogoga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
nti Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma, waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi by'okola. Mmanyi nga tonnyogoga era tobuguma. Waakiri nno obe ng'onnyogoga, oba ng'obuguma!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmanyi ebikolwa byo, nga tonnyogoga so tobuguma: waakiri obe ng'onnyogoga oba obuguma.