Revelation 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ogamba nti: “Ndi mugagga, nnina bingi, mpaawo kye njula,” n'otomanya nti oli munkuseere, akwasa ennaku, mwavu, muzibe wa maaso, oli bukunya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwokubanga ogamba nti, ‘Ndi mugagga era nnina ebintu bingi, sso siriiko kye neetaaga. Sirina kimbulako!’ Sso n’otomanya ng’oli munaku asaasirwa, omwavu, omuzibe w’amaaso era ali obwereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga oyogera nti, Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga ogamba nti: ‘Ndi mugagga, nnina ebintu bingi, siriiko kye njula.’ Sso nga tomanyi ng'oli munaku era asaasirwa, ng'oli mwavu, muzibe, era ng'oli bwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga oyogera nti Ndi mugagga, era ngaggawadde, so ssiriiko kye nneetaaga, so tomanyi ng'oli munaku ggwe era asaasirwa era omwavu era omuzibe w'amaaso era ali obwereere: