Revelation 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tunula, nyweza ebikyasigaddewo, ebisuliridde okufa, kubanga by'okola sibisanze nga bituufu mu maaso ga Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale weegendereze onyweze ebikyasigaddewo ebitannafa. Kubanga mu by’okola sinnalabamu by’otuukiriza mu maaso ga Katonda wange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebitannaba kufa, kubanga ssinnalaba mu bikolwa byo ebituukiridde maaso ga Katonda wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tunula, onyweze ebyo ebikyasigaddewo nga tebinnafa, kubanga mu by'okola sirabamu kituukiridde mu maaso ga Katonda wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tunula, onyweze ebisigaddeyo ebyali bigenda okufa: kubanga ssaalaba ku bikolwa byo ekyatuukirira mu maaso ga Katonda wange.