Revelation 3:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nzuuno nnyimiridde ku mulyango nkonkona; aliba awulidde eddoboozi lyange n'aggulawo oluggi, ndiyingira ewuwe ne ndya naye ekijjulo, nga tuli ffembi wamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba nnyimiridde ku luggi era nkonkona. Buli awulira eddoboozi lyange n’aggulawo, nnaayingira omumwe ne tuliira wamu ffembi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, nnyimiridde ku luggi, nkonkona, omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nzuuno nnyimiridde ku luggi, nkonkona. Awulira eddoboozi lyange n'aggulawo oluggi, nnaayingira omumwe, ne tuliira wamu ffembi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, nnyimiridde ku luggi, nneeyanjula: omuntu yenna bw'awulira eddoboozi lyange, n'aggulawo oluggi, nnaayingira gy'ali, era nnaaliira wamu naye, naye nange.