Revelation 3:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aliba awangudde, ndimuwa n'atuula nange ku nnamulondo, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku nnamulondo ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli awangula ndimukkiriza okutuula ng’anninaanye, ku ntebe yange ey’obwakabaka, nga nange bwe nawangula ne ntuula ne Kitange ku ntebe ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo awangula, ndimukkiriza okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, nga nange bwe nawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awangula ndimuwa okutuula awamu nange ku ntebe yange ey'obwakabaka, era nga nange bwe nnawangula, ne ntuula wamu ne Kitange ku ntebe ye ey'obwakabaka.