Revelation 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso era okyalinamu mu Sarudi amannya g'abamu abatonotono, abatayonoonanga byambalo byabwe; balitambula nange mu byambalo ebyeru, kubanga basaanye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye waliwo abamu mu Saadi abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe, balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye olina amannya matono ag'abantu mu Saadi abatannayonoona ngoye zaabwe, balitambula nange mu ngoye njeru, kubanga basaanidde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu Sarudi olinamu abamu abatonotono abatayonoonanga byambalo byabwe. Balitambula nange nga bambadde engoye enjeru, kubanga basaanidde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye olina amannya matono mu Saadi agataayonoona ngoye zaabwe: era balitambula nange mu ngoye njeru; kubanga basaanidde.